< Hebrews 1 >

1 God, having in the past spoken to the fathers through the prophets at many times and in various ways,
Edda, Katonda yayogeranga ne bajjajjaffe mu ngeri nnyingi ez’enjawulo ng’ayita mu bannabbi;
2 has at the end of these days spoken to us by his Son, whom he appointed heir of all things, through whom also he made the worlds. (aiōn g165)
naye mu nnaku zino ez’oluvannyuma yayogera naffe ng’ayita mu Mwana, gwe yalonda okuba omusika wa byonna, era mu oyo mwe yatondera ensi n’ebintu byonna ebirimu. (aiōn g165)
3 His Son is the radiance of his glory, the very image of his substance, and upholding all things by the word of his power, who, when he had by himself purified us of our sins, sat down on the right hand of the Majesty on high,
Amasamasa n’ekitiibwa kya Katonda, era ky’ekifaananyi kye ddala bw’ali, era abeezaawo buli kintu olw’ekigambo kye eky’amaanyi. Bwe yamala okukola ekikolwa eky’okututukuza okuva mu bibi, n’atuula ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda mu Bwakabaka obw’omu ggulu.
4 having become as much better than the angels as the more excellent name he has inherited is better than theirs.
Bw’atyo n’asinga bamalayika, nga kyeragira ku linnya lye okuba ery’ekitiibwa okusinga amannya gaabwe.
5 For to which of the angels did he say at any time, “You are my Son. Today I have become your father?” and again, “I will be to him a Father, and he will be to me a Son?”
Kubanga ani ku bamalayika gwe yali ayogeddeko nti, “Ggwe oli Mwana wange, Leero nkuzadde?” Era nate nti, “Nze nnaabeeranga Kitaawe gy’ali naye anaabeeranga Mwana wange gye ndi?”
6 When he again brings in the firstborn into the world he says, “Let all the angels of God worship him.”
Era nate bw’aleeta Omwana we omubereberye mu nsi, agamba nti, “Bamalayika ba Katonda bonna bamusinzenga.”
7 Of the angels he says, “He makes his angels winds, and his servants a flame of fire.”
Era ayogera ku bamalayika nti, “Afuula bamalayika be ng’empewo, n’afuula n’abaweereza be ng’ennimi z’omuliro.”
8 But of the Son he says, “Your throne, O God, is forever and ever. The sceptre of uprightness is the sceptre of your Kingdom. (aiōn g165)
Naye ku Mwana ayogera nti, “Entebe yo ey’Obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera emirembe n’emirembe; obutuukirivu, gwe muggo ogw’obwakabaka bwo. (aiōn g165)
9 You have loved righteousness and hated iniquity; therefore God, your God, has anointed you with the oil of gladness above your fellows.”
Wayagala obutuukirivu n’okyawa obujeemu. Katonda, era Katonda wo kyeyava akufukako amafuta ag’omuzeeyituuni agaleeta essanyu okusinga banno.”
10 And, “You, Lord, in the beginning, laid the foundation of the earth. The heavens are the works of your hands.
Ayongera n’agamba nti, “Mukama ku lubereberye wassaawo omusingi gw’ensi, era n’eggulu mirimu gwa mukono gwo.
11 They will perish, but you continue. They all will grow old like a garment does.
Ebyo biriggwaawo, naye ggwe olibeerera emirembe gyonna, era byonna birikaddiwa ng’ekyambalo bwe kikaddiwa.
12 You will roll them up like a mantle, and they will be changed; but you are the same. Your years won’t fail.”
Era olibizingako ng’ekooti bwe zingibwako, era birikyusibwa ng’ekyambalo bwe kikyusibwa. Naye ggwe oba bumu, so n’emyaka gyo tegirikoma.”
13 But which of the angels has he told at any time, “Sit at my right hand, until I make your enemies the footstool of your feet?”
Ani ku bamalayika gwe yali agambye nti, “Tuula wano ku mukono gwange ogwa ddyo, okutuusa lwe ndifufuggaza abalabe bo, ne bafuuka entebe y’ebigere byo”?
14 Aren’t they all serving spirits, sent out to do service for the sake of those who will inherit salvation?
Bamalayika bonna, myoyo egitumibwa okuweereza abo abagenda okusikira obulokozi.

< Hebrews 1 >