< ישעה 6 >

בשנת מות המלך עזיהו ואראה את אדני ישב על כסא רם ונשא ושוליו מלאים את ההיכל 1
Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.
שרפים עמדים ממעל לו שש כנפים שש כנפים לאחד בשתים יכסה פניו ובשתים יכסה רגליו--ובשתים יעופף 2
Waggulu we yali waali wayimiriddewo basseraafi: buli omu ng’alina ebiwaawaatiro mukaaga, ebibiri nga bye bibikka ku maaso ge, ebibiri nga bye bibikka ku bigere bye, n’ebibiri ng’abibuusa.
וקרא זה אל זה ואמר קדוש קדוש קדוש יהוה צבאות מלא כל הארץ כבודו 3
Buli omu yali ng’ayogera ne munne n’eddoboozi ery’omwanguka nti, “Mutukuvu, mutukuvu, mutukuvu, Mukama Katonda Ayinzabyonna: ensi yonna ejjudde ekitiibwa kye.”
וינעו אמות הספים מקול הקורא והבית ימלא עשן 4
N’emisingi gy’emiryango ne ginyeenyezebwa olw’eddoboozi ly’oyo eyali akoowoola mu ddoboozi ery’omwanguka, yeekaalu n’ejjula omukka.
ואמר אוי לי כי נדמיתי כי איש טמא שפתים אנכי ובתוך עם טמא שפתים אנכי יושב כי את המלך יהוה צבאות--ראו עיני 5
Ne ndyoka nkaaba nti, “Zinsanze nze! Nfudde mpeddewo! Kubanga ndi muntu ow’emimwa egitali mirongoofu, era mbeera wakati mu bantu ab’emimwa egitali mirongoofu; kubanga amaaso gange galabye Kabaka, Mukama Katonda ow’Eggye!”
ויעף אלי אחד מן השרפים ובידו רצפה במלקחים--לקח מעל המזבח 6
Olwo omu ku basseraafi n’alyoka abuuka n’ajja gye ndi ng’alina eryanda eryaka mu ngalo ze, lye yali aggye ku kyoto ne nnamagalo.
ויגע על פי--ויאמר הנה נגע זה על שפתיך וסר עונך וחטאתך תכפר 7
Era n’alikomya ku kamwa kange, n’agamba nti, “Laba, lino likoonye ku mimwa gyo, era obutali butuukirivu bwo bukuggyiddwako. Era n’ekibi kyo kikusonyiyiddwa.”
ואשמע את קול אדני אמר את מי אשלח ומי ילך לנו ואמר הנני שלחני 8
Ne mpulira eddoboozi lya Mukama ng’abuuza nti, “Naatuma ani, era ani anaagenda ku lwaffe?” Ne ndyoka njogera nti, “Nze wendi! Tuma nze!”
ויאמר לך ואמרת לעם הזה שמעו שמוע ואל תבינו וראו ראו ואל תדעו 9
Nayogera nti, “Genda obuulire abantu bano nti, “‘Okuwulira munaawuliranga naye temutegeerenga, n’okulaba munaalabanga naye temutegeerenga kye mulabye.’
השמן לב העם הזה ואזניו הכבד ועיניו השע פן יראה בעיניו ובאזניו ישמע ולבבו יבין ושב--ורפא לו 10
Okakanyaze omutima gw’abantu bano, oggale amatu gaabwe, n’amaaso gazibe si kulwa nga balaba n’amaaso gaabwe oba okuwulira n’amatu gaabwe oba okutegeera n’emitima gyabwe ne bakyuka bawonyezebwe.”
ואמר עד מתי אדני ויאמר עד אשר אם שאו ערים מאין יושב ובתים מאין אדם והאדמה תשאה שממה 11
Ne ndyoka njogera nti, “Mukama wange birituusa ddi okuba bwe biti?” Nanziramu nti, “Okutuusa ebibuga lwe birizika nga tewali abibeeramu, ne mu mayumba nga temuli muntu, ensi ng’esigalidde awo,
ורחק יהוה את האדם ורבה העזובה בקרב הארץ 12
okutuusa nga Mukama Katonda agobedde wala buli muntu, era ng’ensi esigadde matongo.
ועוד בה עשריה ושבה והיתה לבער כאלה וכאלון אשר בשלכת מצבת בם--זרע קדש מצבתה 13
N’ekimu eky’ekkumi ekiriba kisigaddewo, nakyo kirizikirizibwa. Naye ng’omumyuliru n’omuvule bwe gireka ebikolo byagyo bwe gitemebwa, bw’etyo ensigo entukuvu bw’erigwa mu ttaka n’esigala ng’ekikolo mu nsi.”

< ישעה 6 >