< איוב 37 >

אף-לזאת יחרד לבי ויתר ממקומו 1
“Kino kikankanya omutima gwange, ne gubuuka okuva mu kifo kyagwo.
שמעו שמוע ברגז קלו והגה מפיו יצא 2
Wuliriza okubwatuka kw’eddoboozi lye, n’okuwuluguma okuva mu kamwa ke.
תחת-כל-השמים ישרהו ואורו על-כנפות הארץ 3
Asumulula eggulu ne limyansa wansi w’eggulu wonna, n’aliragira ligende ku nkomerero y’ensi.
אחריו ישאג-קול-- ירעם בקול גאונו ולא יעקבם כי-ישמע קולו 4
Kino oluggwa, okuwuluguma kw’eddoboozi lye kwe kuddako, abwatuka n’eddoboozi lye ery’omwanguka, era eddoboozi lye bwe liwulirwa, tewabaawo kisigala nga bwe kibadde.
ירעם אל בקולו נפלאות עשה גדלות ולא נדע 5
Eddoboozi lya Katonda libwatuka mu ngeri ey’ekitalo; akola ebintu ebikulu ebisukka okutegeera kwaffe.
כי לשלג יאמר-- הוא-ארץ וגשם מטר וגשם מטרות עזו 6
Agamba omuzira nti, ‘Ggwa ku nsi,’ ate eri enkuba etonnya nti, ‘Ttonnya nnyo.’
ביד-כל-אדם יחתום-- לדעת כל-אנשי מעשהו 7
Emirimu gya buli muntu giyimirira, buli omu n’alyoka amanya amaanyi ga Katonda.
ותבוא חיה במו-ארב ובמעונתיה תשכן 8
Ensolo ne ziryoka zessogga empuku zaazo, ne zigenda zeekukuma.
מן-החדר תבוא סופה וממזרים קרה 9
Omuyaga ne gulyoka guva mu nnyumba yaagwo, n’obunnyogovu ne buva mu mpewo ekuŋŋunta.
מנשמת-אל יתן-קרח ורחב מים במוצק 10
Omuzira ne guva mu mukka gwa Katonda n’amazzi amangi ne gekwata kitole.
אף-ברי יטריח עב יפיץ ענן אורו 11
Ebire abijjuza amatondo g’amazzi, n’asaasaanya okumyansa kw’eggulu.
והוא מסבות מתהפך בתחבולתו לפעלם כל אשר יצום על-פני תבל ארצה 12
Byetooloolatooloola nga y’abiragira, ne bituukiriza byonna by’abiragira, ku nsi yonna okubeera abantu.
אם-לשבט אם-לארצו-- אם-לחסד ימצאהו 13
Bwe kuba kubonereza, oba okufukirira ensi oba okulaga okwagala kwe, atonnyesa enkuba.
האזינה זאת איוב עמד והתבונן נפלאות אל 14
“Wuliriza kino Yobu; sooka oyimirire olowooze ku bikolwa bya Katonda eby’ettendo.
התדע בשום-אלוה עליהם והפיע אור עננו 15
Omanyi Katonda engeri gy’alagiramu ebire, n’aleetera eggulu okumyansa?
התדע על-מפלשי-עב מפלאות תמים דעים 16
Omanyi engeri ebire gye bituulamu mu bbanga, amakula g’emirimu gy’oyo eyatuukirira mu kumanya?
אשר-בגדיך חמים-- בהשקט ארץ מדרום 17
Ggwe alina ebyambalo ebibuguma, ensi bw’eba ng’ekkakkanyizibbwa embuyaga ez’obukiikaddyo,
תרקיע עמו לשחקים חזקים כראי מוצק 18
oyinza okumwegattako ne mubamba eggulu, eryaguma ne libeera ng’endabirwamu ensanuuse?
הודיענו מה-נאמר לו לא-נערך מפני-חשך 19
“Tubuulire kye tunaamugamba; tetusobola kuwoza nsonga zaffe gy’ali olw’ekizikiza kye tulimu.
היספר-לו כי אדבר אם-אמר איש כי יבלע 20
Asaanidde okubuulirwa kye njagala okwogera? Eriyo omuntu yenna ayinza okusaba okumalibwawo?
ועתה לא ראו אור-- בהיר הוא בשחקים ורוח עברה ותטהרם 21
Kaakano tewali n’omu ayinza kutunula mu njuba, olw’engeri gy’eyakamu ku ggulu, ng’empewo emaze okuyita, n’eyelula ebire.
מצפון זהב יאתה על-אלוה נורא הוד 22
Mu bukiikakkono evaayo zaabu; Katonda ajja mu kitiibwa eky’amaanyi.
שדי לא-מצאנהו שגיא-כח ומשפט ורב-צדקה לא יענה 23
Ayinzabyonna tatuukikako era agulumidde mu maanyi, mu bwenkanya bwe era ne butuukirivu bwe, tawaliriza muntu yenna.
לכן יראוהו אנשים לא-יראה כל-חכמי-לב 24
Noolwekyo abantu bamutya, takitwala ng’ekikulu olw’abo abeerowooza okuba abagezi mu mitima gyabwe.”

< איוב 37 >