< במדבר 28 >

וידבר יהוה אל משה לאמר 1
Mukama Katonda n’agamba Musa nti,
צו את בני ישראל ואמרת אלהם את קרבני לחמי לאשי ריח ניחחי תשמרו להקריב לי במועדו 2
“Lagira abaana ba Isirayiri ng’obagamba nti, ‘Mutegekenga ekiweebwayo kyange mu biseera bye nnyini, ye mmere ey’ebiweebwayo byange ebyokye, nga bivaamu akawoowo akalungi akansanyusa.’
ואמרת להם--זה האשה אשר תקריבו ליהוה כבשים בני שנה תמימם שנים ליום עלה תמיד 3
Bagambe nti, ‘Ekiweebwayo ekyokye ky’ojjanga okuwaayo eri Mukama, kinaabanga bwe kiti: endiga ennume bbiri ezitaliiko kamogo nga buli emu ya mwaka gumu ogw’obukulu: zaakuweebwangayo nga njokye buli lunaku.
את הכבש אחד תעשה בבקר ואת הכבש השני תעשה בין הערבים 4
Endiga emu munaagiwangayo mu makya, n’endiga eyookubiri munaagiwangayo akawungeezi;
ועשירית האיפה סלת למנחה בלולה בשמן כתית רביעת ההין 5
nga muteekeddeko ne kilo emu n’ekitundu ez’obuwunga obulungi nga butabuddwamu lita ng’emu ey’amafuta ge zeyituuni.
עלת תמיד--העשיה בהר סיני לריח ניחח אשה ליהוה 6
Ekyo ky’ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera nga bwe kyalagirwa ku lusozi Sinaayi, nga ke kawoowo akasanyusa ak’ekiweebwayo ekyokye eri Mukama.
ונסכו רביעת ההין לכבש האחד בקדש הסך נסך שכר--ליהוה 7
Ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako kinaabanga kya lita ng’emu ku buli ndiga. Ekiweebwayo ekyokunywa eri Mukama Katonda munaakifukiranga mu watukuvu.
ואת הכבש השני תעשה בין הערבים כמנחת הבקר וכנסכו תעשה אשה ריח ניחח ליהוה 8
Endiga eyookubiri mugiteekateekanga kawungeezi, mu ngeri y’emu n’eyo ey’omu makya. Ekyo kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa, omuva akawoowo akalungi akasanyusa Mukama Katonda.’
וביום השבת--שני כבשים בני שנה תמימם ושני עשרנים סלת מנחה בלולה בשמן--ונסכו 9
“Ku lunaku lwa Ssabbiiti munaaleetanga ekiweebwayo eky’endiga ennume ez’omwaka ogumu ogw’obukulu, ezitaliiko kamogo, wamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, n’ekiweebwayo eky’obuwunga obulungi ekiweza nga kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu nga butabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni.
עלת שבת בשבתו על עלת התמיד ונסכה 10
Kino kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli Ssabbiiti, nga kyongerwa ku kiweebwayo ekyokebwa ekya buli kiseera awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
ובראשי חדשיכם--תקריבו עלה ליהוה פרים בני בקר שנים ואיל אחד כבשים בני שנה שבעה תמימם 11
“Ku buli lunaku olw’olubereberye olwa buli mwezi onooleetanga eri Mukama ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ennume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume musanvu abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu; byonna nga tebiriiko kamogo.
ושלשה עשרנים סלת מנחה בלולה בשמן לפר האחד ושני עשרנים סלת מנחה בלולה בשמן לאיל האחד 12
Ku buli nte nnume ento munaaleeterangako kilo ttaano ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke epima kilo ssatu n’obutundutundu bubiri n’ekitundu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni;
ועשרן עשרון סלת מנחה בלולה בשמן לכבש האחד עלה ריח ניחח אשה ליהוה 13
ku buli mwana gw’endiga ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke eky’obuwunga obulungi obupima kilo emu n’ekitundu obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni. Ebyo byonna bye by’ekiweebwayo ekyokebwa, ekivaamu akawoowo akalungi ak’ekiweebwayo ekiri ku muliro, ekiweereddwayo eri Mukama Katonda.
ונסכיהם חצי ההין יהיה לפר ושלישת ההין לאיל ורביעת ההין לכבש--יין זאת עלת חדש בחדשו לחדשי השנה 14
Ku buli nte ennume ento kunaaleeterwangako ekiweebwayo ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu munaana eza wayini; ku ndiga ennume ento ekya wayini apima lita emu n’obutundu bubiri, ne ku buli mwana gw’endiga ennume ekyokunywa ekya lita emu n’obutundu bubiri eza wayini. Ekyo kye kinaabanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya buli mwezi nga gwakaboneka mu mwaka.
ושעיר עזים אחד לחטאת ליהוה על עלת התמיד יעשה ונסכו 15
Ng’oggyeko ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako, munaaleetanga embuzi ennume nga kye kiweebwayo olw’ekibi eri Mukama Katonda.
ובחדש הראשון בארבעה עשר יום--לחדש פסח ליהוה 16
“Olunaku olw’ekkumi n’ennya mu mwezi ogw’olubereberye kwe kunaabanga Embaga ey’Okuyitako kwa Mukama Katonda.
ובחמשה עשר יום לחדש הזה חג שבעת ימים מצות יאכל 17
Ku lunaku olw’ekkumi n’ettaano olw’omwezi ogwo kwe kunaabeeranga embaga; munaalyanga emigaati egitali mizimbulukuse okumala ennaku musanvu.
ביום הראשון מקרא קדש כל מלאכת עבדה לא תעשו 18
Ku lunaku olw’olubereberye munaabeeranga n’okukuŋŋaana okutukuvu; era temulukolerangako mirimu gyonna egy’okukakaalukana.
והקרבתם אשה עלה ליהוה פרים בני בקר שנים ואיל אחד ושבעה כבשים בני שנה תמימם יהיו לכם 19
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eri Mukama Katonda, ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente eza sseddume ento bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka gumu ogw’obukulu; nga byonna tebiriiko kamogo.
ומנחתם--סלת בלולה בשמן שלשה עשרנים לפר ושני עשרנים לאיל--תעשו 20
Ku buli nte ento ennume munaaleeterangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ng’eweza kilo ssatu ez’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni; ku ndiga ennume ento munaaleeterangako kilo bbiri;
עשרון עשרון תעשה לכבש האחד--לשבעת הכבשים 21
ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, kilo emu.
ושעיר חטאת אחד לכפר עליכם 22
Munaaleeterangako embuzi ennume emu ey’ekiweebwayo olw’ekibi olw’okwetangiririza.
מלבד עלת הבקר אשר לעלת התמיד--תעשו את אלה 23
Ebyo byonna munaabiteekateekanga nga mwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo ekya buli makya.
כאלה תעשו ליום שבעת ימים--לחם אשה ריח ניחח ליהוה על עולת התמיד יעשה ונסכו 24
Munaategekanga mu ngeri eyo, buli lunaku, emmere ey’ekiweebwayo ekyokebwa, okumala ennaku musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda; ekyo kinaateekebwateekebwanga okwongereza ku kiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo awamu n’ekiweebwayo ekyokunywa ekigenderako.
וביום השביעי--מקרא קדש יהיה לכם כל מלאכת עבדה לא תעשו 25
Ku lunaku olw’omusanvu munaakubangawo olukuŋŋaana olutukuvu, era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.
וביום הבכורים בהקריבכם מנחה חדשה ליהוה--בשבעתיכם מקרא קדש יהיה לכם כל מלאכת עבדה לא תעשו 26
“Ku lunaku olw’ebibala ebibereberye, kwe munaaleeteranga ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga, eri Mukama Katonda, ku Mbaga ya Wiiki, munaakubanga olukuŋŋaana olutukuvu; era temuukolerengako mirimu gyonna egya bulijjo egy’okukakaalukana.
והקרבתם עולה לריח ניחח ליהוה--פרים בני בקר שנים איל אחד שבעה כבשים בני שנה 27
Munaawangayo ekiweebwayo ekyokebwa eky’ente ento eza sseddume bbiri, n’endiga ento ennume emu, n’abaana b’endiga abalume abawezezza omwaka ogumu ogw’obukulu musanvu, nga ke kawoowo akasanyusa Mukama Katonda.
ומנחתם--סלת בלולה בשמן שלשה עשרנים לפר האחד שני עשרנים לאיל האחד 28
Ku buli nte ya sseddume kunaaleeterwangako ekiweebwayo eky’emmere y’empeke ey’obuwunga obulungi obutabuddwamu amafuta ag’omuzeeyituuni obupima kilo ttaano; ne ku ndiga ennume ento, obupima kilo ssatu n’obutundu bubiri n’ekitundu;
עשרון עשרון לכבש האחד--לשבעת הכבשים 29
ne ku buli emu ku baana b’endiga ennume omusanvu, obupima kilo emu n’ekitundu.
שעיר עזים אחד לכפר עליכם 30
Munaagattangako n’embuzi ennume emu ento olw’okwetangiririza.
מלבד עלת התמיד ומנחתו--תעשו תמימם יהיו לכם ונסכיהם 31
Ebyo byonna munaabiwangayo awamu n’ekiweebwayo kyabyo ekyokunywa; okwo kwe munaagattanga ekiweebwayo ekyokebwa ekya bulijjo n’ekiweebwayo kyako eky’emmere ey’empeke. Mwegenderezenga okulaba ng’ensolo ezo zonna teziriiko kamogo.”

< במדבר 28 >